Amawulire

Kkooti eraze ennaku okuwulira okusaba kwa babaka ba NUP

Kkooti eraze ennaku okuwulira okusaba kwa babaka ba NUP

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Kooti enkulu e Masaka etaddewo nga 21 omwezi guno okuwulira okusaba okwokweyimirira ababaka Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West.

Omulamuzi omugya Lawrence Tweyanze yaagenda okuwulira okusaba kw’ababaka bano abali ku misango musanvu okuli egy’obutemu, okuvujjirira obutujju saako n’obutujju.

Gyebuvuddeko Omulamuzi Tweyanze yali yagaana okuwulira okusaba kw’abantu bano nga agamba nti ye mupya nga ayagala Omulamuzi Victoria Nakintu Katamba y’aba akuwulira olwokuba nti yeyasooka okuwulira okweyimirirwa kwabwe.

Musa Matovu munna mateeka wababiri bano agamba nti basanyufu okuba nga kyadaaki baweereddwa olunaku lw’okubawuliriza.

Bannamatteeka b’abakwate baateekamu ensonga kkumi n’emu kwebeesigamye okulaba nga abantu baabwe bateebwa.