Amawulire

Kkooti ekakasiza Uhuru kubwa Meeya

Kkooti ekakasiza Uhuru kubwa Meeya

Ivan Ssenabulya

September 30th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah, 

Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa kwa Salim Saad Uhuru nga meeya omulonde owegombolola ya masekati ga Kampala.

Kino kidiridde kkooti okugoba okusaba kwa munne bwebavuganya ku kifo kino Hamdan Semugooma Kigozi bwetegezeza nti obujjulizi bwalina mu musango guno tebumatiza.

Omulamuzi Isaac Muwaata bwatyo alagidde Semugooma okusasula Uhuru nákakiikoke byokulonda ensimbi zonna zebasasanyiriza mu musango guno.

Uhuru asanyukidde okusalawo kwa kkooti bwategezeza nti Semugooma teyalina kwasinzira kuwangula musango.

Uhuru nga yavuganyiza ku kaada ya NRM yalangirirwa akakiiko ke byokulonda ngomuwanguzi kubwa meeya mu masekati ga Kampala bweyafuna obulu 13,114 ate Semugooma owa NUP nafuna 10,654.