Amawulire

Kkooti ekakasiza Ssenyonyi ngómubaka wa Nakawa West

Kkooti ekakasiza Ssenyonyi ngómubaka wa Nakawa West

Ivan Ssenabulya

October 14th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu Kampala ekakasiza okulondebwa kwa Joel Ssenyonyi ngomubaka wa Nakawa West omulonde mu lukiiko lwe ggwanga olukulu.

Shukla Mukesh yeyaddukira mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwa Senyonyi.

Mu mpaabaye, Mukesh yagamba nti waliwo emivuyo mingi omwali okuleeta abantu abataali bakitundu okulonda nókubba obululu.

Era yanenya akakiiko ke byokulonda okweyambisa DR foomu ezaali zitakakasiddwa abakulira okulondesa mu konsituwense okulangirira Ssenyonyi ku buwanguzi

Wabula omulamuzi Isaac Muwata agobye omusango guno bwategezeza nti tewafunise bujjulizi bulaga nti DR foomu ezogerwako tezaliko mukono gwa balondesa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *