Amawulire

Kkooti ekakasiza omubaka Nsegumire

Kkooti ekakasiza omubaka Nsegumire

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ejjulirwamu egobye omusango gwe byokulonda eyavuganya ku bubaka bwa palamenti mu kifo kya Mityana North, Dr Gordon Sematiko Katende mwawakanyiza obuwanguzi bwómubaka Nsegumire Muhammad Kibedi.

Abalamuzi basatu abagubadde mu mitambo okuli Geoffrey Kiryabwire, Stephen Musota ne Christopher Gashirabake bategezezeza nti omusango gwa Sematiko tegubadde na bujjulizi bumatiza ne balangirira munna NRM Nsegumire ngomubaka wa Mityana North omulonde.

nomwaka oguwedde kkooti enkulu yagoba omusango gwa Sematiko nga alumiriza nti munne Nseegumire yabba akalulu nokukozesa olulimi oluwoola era kkooti egamba nti obujjulizi bwa sematiko bwali tebumatiza.