Amawulire

Kkooti ekakasiza Omubaka Nabeta

Kkooti ekakasiza Omubaka Nabeta

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ekakasiza okulondebwa kwa Munna NRM Nathan Igeme Nabeta ngómubaka wa Jinja South East mu palamenti.

Munne bwebavuganya mu kulonda okwakaggwa Paul Mwiru yeyaddukira mu kkooti nga awakanya okulondebwakwe.

Wabula abalamuzi basatu abatuula mu kkoti eno bagobye omusango gwa Mwiru nga bagamba nti omusango yagutwalayo kikerezi.

Paul Mwiru yali annenya akakiiko ke byokulonda ne Nabeta okwekobaana okubba obuwanguzibwe mu kulonda okwaliwo nga 14th January ekyamuvirako okuwangulwa.

Omulamuzi wa kkooti enkulu Issa Sserunkuma yeyasooka ogugoba omusango guno wabula Paul Mwiru eyagira ku kaada ya ANT teyamatira kwekwekubira enduulu mu kkooti ejjulirwamu.