Amawulire

Kkooti ekakasiza omubaka Aloysius Mukasa mu Rubaga South

Kkooti ekakasiza omubaka Aloysius Mukasa mu Rubaga South

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu mu kampala ekakasiza Aloysius Mukasa ngomubaka omutuufu eyalondebwa abatuuze be Lubaga South.

Kino kyadirira munna DP Eugenia Nassolo bwebavuganya ku kifo kino okugyayo omusango gweyali yatwala mu kkooti.

Kkooti etegezeza nti kulwobulungi bannamateeka bejuyi zonna bakkiriziganyiza omusango guvve mu kkooti awatali kusasuza muntu yenna nsimbi ezisasanyiziddwa mu kkooti.

Omulamuzi Winfried Nabisinde naye tawakanyiza yatwala musango bwatyo nakakasa Mukasa ngomubaka omulonde owa Rubaga South.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *