Amawulire

Kkooti egobye okusaba kwa bakulembeze ba disitulikiti yé Masaka ku ttaka lya Kabaka

Kkooti egobye okusaba kwa bakulembeze ba disitulikiti yé Masaka ku ttaka lya Kabaka

Ivan Ssenabulya

May 5th, 2022

No comments

Bya Malik Fahad,

Kooti enkulu e Masaka egobye okusaba okubadde kuyimiriza abakulembeze ba disitulikiti ye Sembabule okukozesa ettaka lyobwakabaka bwa Buganda.

Bannamateeka ba Buganda aba Atumanya Company Advocates bawawabira abantu nga bakayanira ettaka erisangibwa ku block 83 plots 260 ne 196 ku kyalo Kabosa.

Ekitongole kya Buganda Land Board kirumiriza Benon Kutesa Burora, Dr Elly Muhumuza, Alfred Mbasa Nabasa nbalala okukozesa olukujjukujju okutwala ettaka lya Buganda.

Omu ku bavunaanwa Benon Kutesa Bulora agambye nti okusaba kwabwe okubayimiiza okukozesa ettaka bakugobye, kati balinze omusango gwonna guwulirwe.