Alipoota

Kizuuse nga masekati ku bannayuganda tebalina kyakulya.

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Waliwo okunonyereza okukoleddwa nezisuuka nga masekati ku bannayuganda  tebalina nsimbi zakwebeezawo, era nga  tebalina na kyakulya kyamisana na kyagulo.

Kuno okunonyereza kwakoleddwa  ekibiina ekya Twaweza, nga kwalaze  nti ebitundu 84% kubannayuganda sibasanyufu n’engeri eby’enfuna bya uganda gyebidukanyizibwamu.

Bwabadde afulumya alipoota eno Marie Nanyanzi nga ono yakulira ekiwayi ekya  Sauti Za wananchi mu kibiina kino ekya Twaweza  ategeezeza nga abantu bebaabuziza ,ebitundu  85% baategeezeza nti mu myezi 3 egyakayita baludde nga okufuna eky’okulya mukisa bukisa .

Nanyanzi agamba nti mungeri yeemu bakizudde nga ekizibu ky’emere kyamaanyi nadala mu byalo nga eno abantu  51% tebalina kyakulya, songa mu kibuga abayala bakola ebitundu  45%.