Amawulire

Kidandala alayidde obutajjaayo musango gwa Ssegirinya

Kidandala alayidde obutajjaayo musango gwa Ssegirinya

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyavuganya ku kifo kyomubaka wa Kawempe North, Sulaiman Kidandala alayidde nti tagenda kujja nta mu musango, gwokulwaniririra obunwaguzi bwe.

Ono yawawabira omubaka Muhammed Segirinya, ngawakanya empapula ze ezobuyigirize.

Kati agambye nti azze afuna okutisibwatisbwa nti ave musango guno, okuva mu babeyokwerinda nabakulu abalala mu gavumenti.

Kidandala ategezezza bannamawulire ku kooti enkulu mu Kampala nti tajja kuva ku mulamwa.

Kino kyadiridde omulamuzi Henrietta Wolayo ali mu musango guno okusaba nti enjuuyi zombie, basooke batabaganye.