Amawulire

Khalid Aucho yetonze

Khalid Aucho yetonze

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

Omuwuwutanyi wa tiimu y’egwanga, the Uganda cranes Khalid Aucho yetondedde egwanga n’ekibiina ekitwaala omuzanyo gw’omupiira mu gwanga ekya FUFA olw’okusiwuuka empisa ekyamuviirako okugobwa mu nkambi.

Aucho okugobwa kyadirira okugaana entambula eyasindikibwa okumunona ku kisaawe Entebbe, okumutwala mu nkambi e Kisaasi, gyebasula.

Akulira ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yavaayo nategeeza nti ensoonga za Khalid Aucho okugobwa kyekuusa ku kumuwagira, wabula Aucho kyeyebalamye mu bubaka bwe obw’okwetonda.

Kati Aucho wakusubwa emipiira ebiri omuli ogwa Burkina Faso kulw’okusatu n’ogwa Malawi ku balaza ya wiiki ejja.