Amawulire

Kenzo akwatibwe- kkooti

Ali Mivule

September 19th, 2014

No comments

Kenzo

Kkooti Enkulu mu Kampala eragidde bawanyondo ba Kkooti bakwate omuyimbi Eddy Kenzo  olw’okulemererwa okusasula amabanja.

Okusinzira ku kiwandiiko kya kkooti nga kiriko omukono gw’omuwandiisi Muhammad Kasakya,  Kenzo alina okukwatibwa obutasukka bbalaza ssabbiiti ejja

Kkooti eragidde atwala poliisi y’oku luguudo lwe Jjinja mu kampala okukwatagana ne ba wanyondo bakwate omuyimbi Kenzo olw’okulemererwa okusasula obukadde buna ezamuweebwa okuyimba mu kivvulu mu mwaka 2010 kyokka n’atalabikako.

Kigambibwa nti Henry Babona ng’ono yeeyali pulomoota wa we mu mwaka 2010 yawa Kenzo sente ezo yeetabe mu kivvulu ekyatuumibwa Christmas Taminor ,kyokka nga teyakikola ate n’atazza na ssente.

Kenzo kati alina okusasula oba okusibwa emyezi mukaaga

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *