Amawulire

KCCA yetaaga obuwumbi 81 okumalawo akalipagano kébidduka mu kibuga

KCCA yetaaga obuwumbi 81 okumalawo akalipagano kébidduka mu kibuga

Ivan Ssenabulya

August 18th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekidukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) kyetaaga obuwumbi bwensimbi za Uganda 81okuvujirira enteekateeka yaayo eyokulwanyisa akalipagano ke biduuka mu kibuga emanyiddwa nga traffic flow control master plan.

Bino byogeddwa Robert Kyukyu, avunanyizibwa ku byentekateeka mu kitongole kino bwabadde alabiseko mu maaso ga kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa kunsonga zomukulembeze weggwanga.

Anyonyodde nti entekateeka ezokugula ebintu ebyetaagisa okutwala omulimo guno mu maaso eri mu mitendera egisembayo era wetunatukira omwaka gwa 2022 omulimu gujja kuba gutambudde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *