Amawulire

KCCA yakuddamu okumenya ebizimbe

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

budilings demolished

Aba Kampala capital city authority bagenda kuddamu okumenya ebizimbe ebitatuukagana na mutindo

Muno mwemuli ebizimbibwa nga tekuli makubo ga baziinya mooto ssinga omuliro gukwata, ebifo awasimba emmotoka nga n’ebirala eby’okuusa okuva ku pulaani eziba ziyisiddwa

Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti ebizimbe nga bino bissa obulamu bw’abantu mu matigga

Ono agamba nti ba landiloodi abalina ebizimbe bino bamaze okulabulwa okukyuusaamu oba ssi kkyo byakumenyebwa

Okusinziira ku tteeka,nanyini kizimbe ekikyaamu ate y’asasula n’ensimbi ezikimenya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *