Amawulire

KCCA teyetaaga Loodimeeya kutambula-Gavumenti

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

Lukwago case fixed

Bannamateeka ba KCCA bategezezza nga ekitongole kya KCCA bwekisobolera ddala okudukanyizibwa awatali loodi meeya.

Munnamateeka wa KCCA Charles Ouma bwabadde awayo okwewozako kwa KCCA eri abalamuzi ba kooti ensukulumu 7 abakulembeddwamu Esther Kisakye , ategezezza nga Lukwago watabadde mu ofiisi kati emyezi etaano naye nga emirimu  gitambula bulungi.

Ono ategezezza nga minister wa kampala bwasobodde okulungamya bannabyabufuzi mu KCCA kate nga loodi meeya teyetagisa.

Mungeri yeemu akiikiridde ssabawabi wa gavumenti Martin Mwambusha ategezezza nga Lukwago bwatalina nsonga yasimba gyawa okudda mu ofiisi nga era mpaawo kukosebwa kwonna kwayinza kufuna nga ali bweru wa ofiisi nga ye bwagamba.

Wabula bbo bannamateeka ba Lukwago nga bakulembeddwamu  Abdul Katuntu bakyakalambidde nti omulamuzi wa kooti ejulirwamu Steven Kavuma, omuntu wabwe yamugoba mu ofiisi mu bukyamu nga kooti enkulu emaze okulagire addeyo akole.

Katuntu agamba  Kavuma yasalawo ne ku nsonga zeyali talina kuyingirira nga kuliko ebiri maaso g’omulamuzi wa kooti enkulu  Yasin Nyanzi n’omuwadiisi wa kooti Fred Waninda .

Okuwulira okwemulugunya kwa Lukwago kukyagenda maaso.