Amawulire

KCCA ewangudde Uganda cup

Ali Mivule

June 16th, 2017

No comments

Bya Ali Mivule

KCCA FC baawangudde ebikopo 2 mu sizoni emu omulundi gwaabwe ogusookedde ddala.

Oluvanyuma lw’okuwangula liigi y’eggwanga, batabani ba Mike Mutebi baawangudde ne Uganda Cup oluvanyuma lw’okukuba Paidha Black Angels 2-0 mu Arua

Muyizi tasubwa wa Uganda Cranes Geofrey Sserunkuma yeyasoose okuteeba mu ddakiika 10 mu kitundu ekisooka ate Derrick Nsibambi n’afuna eyokubiri.

Mu mupiira gwegumu omuwuubi w’akatambaala Samuel Kayondo yawumudde .

Badiifiri banne baamuwuubidde obutambaala okumusiibula mu kitiibwa

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *