Amawulire

KCCA etandise okunonyereza ku basirikale baayo abaakubiddwa

Ali Mivule

December 3rd, 2013

No comments

 Musisi

Ekitongole kya Kampala capital City Authority  kitandise okunonyereza ku bakwasisa amateeka bakyo  abakubiddwa abatembeeyi nga 5 balumiziddwa  byansuso era  bali mu ddwaliro bapoocca na biwundu, nga ate emmotoka za KCCA 3 nazo zayononeddwa ebitagambika.

Akulira abakozi mu KCCA  Jennifer Musisi agamba bataddewo  akakiiko kekenenye byonna ebyabaddewo nga tebanasalawo kyakuzzako.

Musisi wabula agamba oluusi abakwasi b’amateeka bano  bakozesa obukambwe obusukiridde nebonona  ebyamaguzi byabasubuzi ekitali kyabwenkanya.

Agamba kati KCCA yakukola ebikwekweto byonna nga bayambibwako poliisi okwewala okulumbibwa ebiina ly’abasuubuzi bano nga bwekyabadde.

Emirimu gyasanyaladde akawungezi kajjo abasubuzi b’okunguudo bwebatabukidde aba KCCA abaabadde bawamba ebyamaguzi byabwe nebabawumiza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *