Amawulire

KCCA etadewo amateeka amagya okuziyiza ebirekaana mu kampala

KCCA etadewo amateeka amagya okuziyiza ebirekaana mu kampala

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekiddukanya e kibuga Kampala ki Kampala capital City Authority kitaddewo amateeka amaggya agagenda okugobererwa eri bannyini bibanda bya Firimu,bannyini makanisa saako n’abantu bonna abatunda CD okusobola okuziyiza okulekaana okuyitiridde mu kibuga Kampala.

Okusinziira ku mateeka agateredwa mu budde okuva ku saawa 12 ez’okumakya okutuuka ku saawa 4 ez’ekiro tebalina kusukka volume75 mu bifo eby’emirimu ate okuva ku saawa 10 ez’ekiro okutuuka ku saawa 12 ez’okumakya tebalina Kusukka volume 50.

Amateeka gano era galambise nti mu bifo ebisulwamu tebalina kusukka volume 60 mu budde bw’emisana ate volume 40 mu budde bw’okwebaka.

Mu lukungaana olubadde e Makerere akulira okulungamya emirimu gye by’empuliziganya mu KCCA Setenda Peter agambye nti abantu bonna abatagoberere mateeka gano bakuvunanibwa.