Amawulire

KCCA etabukidde abamenya amateeka, ab’enviiri basibiddwa

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

KCCa officia beaten

Abasajja bibiri abasuula kasaasiro mu luguudo batanziddwa emitwalo 90 buli omu.

Francis Mukiibi  nga mukungaanya wa Kasasiro ne Moses Mugula nga bonna babeera Bakuli basimbiddwa mu maaso ka kkooti ya Cityhall ebasalidde ekibonerezo.

Ababiri bano baggulwaako misango gyakufuuna byeneena n’okujamawaza ekibuga

Okuvaako era mu kkooti yeemu, omukyala w’emyaka asatu asibiddwa wiiki ssatu lwakuyingirira ddembe lya balala.

Prossy Namutebi naye abadde mu maaso g’omulamuzi Moses Nabenda n’akkiriza emisango

Oludda oluwaabi lugamba nti Namutebi yayimirira ku ;luguudo n’ayita abakyala bayingire mu saluuni ye ekintu ekimenya amateeka

Omulamuzi asabye abakyala bonna abagaala ba kasitoma okubalindira mu ma saluuni gaabwe mu kifo ky’okwesimba ku nguudo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *