Amawulire

Kattikiro atongozza Obusiki bw’amattikira

Kattikiro atongozza Obusiki bw’amattikira

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda okusitukiramu okulwanyisa ebikolwa byokusanyaawo obutonde bwensi, ekivuddeko obutyabaga obwenkyukkyuka yobudde.

Katikkiro okwogera bino abudde mu bumuli bye Bulange e Mengo amagombolola agenjawulo okuva mu masaza okubadde Buddu ne Busujju bwegakiise embuga mu nkola ya Luwalo lwaffe.

Kati ku mukolo guno katikkiro era kwatongolezza obusiki bwa Amatikkira ga Kabaka ag’emyaka 26, agagenda okukuzibwa nga 31 omwezi guno mu ssaza lye Busiiro.