Amawulire

Katikkiro wa Tooro alekulidde

Katikkiro wa Tooro alekulidde

Ivan Ssenabulya

August 26th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Obukama bwa Tooro bukakasizza okulekulira kwa Ssaabaminisita waabwe Bernard Tungwako.

Okusinziira ku minisita omubeezi ow’ebyamawulire mu bukama buno Vicent Mugume, Tungwako yakola ebbaluwa eyokulekulirakwe nga August 20th.

Okusinziira ku Mugume, Ssaabaminisita alaga mu bbaluwa ye nti yali aweereddwa omulimu gw’eggwanga era bwatyo ayagala okwewala okukontana.

Wabula Tungwako yeeyama okugenda mu maaso n’okutumbula n’okuwagira ebirungi by’Obukama

Mugume mungeri y’emu agamba nti Ssaabaminisita omupya wakulondebwa mangu.

Ssaabaminisita okulekulira kijjidde mu kiseera, ng’obukama bwe Tooro bwetegekera okujaguza emyaka 27 bukya Omukama Oyo Nyimba Iguru atuuzibwa mu ntebe.