Amawulire

Katikkiro ku nsonga za “Kyapa mungalo”

Ali Mivule

May 8th, 2017

No comments

 

Bya Shamim Nateebwa

Obunafu bwa police okunonyerezza kumisango gye ttaka kitunuliddwa nga ekimu ku bisinze okuvaako enkaayana z’ettaka wano mu Uganda.

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bw’ati bwategezezza ababak mu lukiiko lwa Buganda olutudde amakya galeero.

Katikkiro agambye  kooti yesigama kubujurizi bwa police mukusala emisango kale singa eba tekoze gwayo enkaayana zizakuggwa kati.

Mungeri yemu katikkiro anyanirizza akakiiko k’etaaka akateledwawo  okunonyerezza wabula nategezza nti Obunafu buli mukitongole kya police n’ekitongole ekikamuzi olwebizibu byekilina omuli abalamuzi abatono wamu n’omusaala omutono e kivaako okwezingama.

N’olwekyo ekitongole kya police ne kilamuzi byebilina okuterezebwa okujjawo emitawana gye ttaka.