Amawulire

Katikkiro azizzaawo ensisiira ku masiro

Ali Mivule

December 11th, 2013

No comments

Buganda Lukiiko 1

Ebika bya Buganda bisabiddwa okwettanira enkola ya tekinologiya mu kukola emirimu gyabyo.

Okusaba kuno kukoledwa Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga mu kutongoza  omukutu gwa yintaneeti ey’ekikka kya Kayozi.

Katikiro agambye nti kino kyakuyamba okumanyisa abantu bikwata ku buwangwa n’enono mu bwangu.

Zo ensimbi ezisoba mu bukadde 30 n’ensawo za cement 200 zeezisondedwa olunaku olwaleero.

Bino webigyidde nga Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga azzeemu buto okukuba olusiisira e Mengo ku nsonga z’amasiro

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *