Amawulire

Katikkiro abakakkanyizza- amasiro gajja kuggwa

Ali Mivule

October 1st, 2014

No comments

Katikkiro at Kasubi 2

Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agumiza Obuganda ku mulimu gw’okuzimba amasiro ge Kasubi.

Kino kidiridde abantu abenjawulo omuli  Nalinya w’amasiro Beatrice Namikka ne Katiro Ssalong George Mulumba okwemulungunya kungeri omuli guno gyegutambulamu.

Okusinzira ku entekateka eyasooka enyumba ya Muzibu azzalampanga  yalina okumalirizibwa mu mwezi gwokusatu omwaka guno, kyoka n’okutuusa kati tenaserekabwa.

Katikiro Mayiga agambye nti wadde ebisomooza mu kuzimba amasiro mwebiri, naye Buganda netegefu okubyenganga.

Ensimbi ezisobye mu kakadde kamu n’emitwalo kwenda zezisondeddwa olwalero mu masiro e Kasubi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *