Amawulire

Katikiro akuutidde abakulembeze ba Kampala okukola ku biruma bannakibuga

Katikiro akuutidde abakulembeze ba Kampala okukola ku biruma bannakibuga

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisita avunanyizibwa kunsonga za Kampala ne miriraano, Minsa Kabanda asabye abakulembeze mu bwakabaka bwa Buganda okuyambako ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority okunogera eddagala ebisoomoza ekibuga.

Bino abyogedde akyadeko embuga wamu nomumyukawe Kyofatogabye Kabuye, gye basisinkanidde kamala byonna wa Buganda Charles peter Mayiga enkya ya leero.

Ensisinkano egenderedde bakulubano kusaba kufunanga kuwabulwa okuva eri obwakabaka ku nzirukanya yékibuga mpozi nokweyanjula mu butongole nga bwebalya obwami mu gavt eyawakati

Katikiro yeyamye nti obuganda bwakukolagana ne KCCA mu kutumbula pulogulamu zonna ezirubirira okukulakulanya ekibuga.

Wabula asoomozeza abakulembeze ba kampala okukola ku bizibu ebyangungu ebiruma bannakampala naddala ekigambo kyobukyafu ne bbula lye mirimu mu bavubuka nokusimba emiti mu kibuga