Amawulire

Katemba mu Palamenti, Alipoota ku Kutulugunya Zifulumye Bbiri

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2017

No comments

Bya Moses Kyeyune, Sam Ssebuliba

Akakiiko ka palamenti ake ddembe lyobuntu akatekebwawo okunonyereza ku byokutulugunya abasibe e Nalufenya kategezezza nti kakizudde ng’abasinga ku basibe abagambibwa okutulugunyizibwa  nti batulugunyizbwa tebanatwalibwa ku poliisi eno.

Ngennaku zomwezi 17th Mayi omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga yawa ababaka abatuula ku kakiiko eddimu okunonyererza.

Kati bwabadde ayanja alipoota yakakiiko kano, ssentebe waako omukaba Jovah Kamateka ategezezza nti atwala poliisi ye Nalufenya Henry Mugumya yabategeeza nti bakuuma absibe kyenkana amakumi 50 buli lunnaku.

Kati ku nsonga za Mayor we tawun coincuil ye Kamwenge Geoffrey Byamukama, nabalala abogerwako batulugunyizbwa nga tebanaletebwa ku poliisi eno.

Wabula mu birarla byebazudde kwekuba nti absinga bakwatibwa nebagalirwa e Nalufenya ebbanga erisukiridde nga tebatwaliddwa mu kooti, abe waabwe nga tebamanyi awatali ne bannamateeka baawbe okubatukirira. .

Wabula mu kukebera ebiwandiiko alaipoota yabababaka eraga nti abamu ku basibe bajjibwa eno nebabatwala e Luzira.

Mu kuwumbawumba akakiiko kagambye nti kazudde nti eno ssi poliisi wabula akaddukulu akali awo bwekatyo.

Wabula ate akakiiko kanjudde alipoota za mirundi ebiri ezikuubagana, ekireeswo okwewunaganya mu palamenti.

Alipoota ya ssentebbe wakaiiko Jovah Kamateeka, ewakanyiziddwa omubaka we Kilak North, Anthony Akol ngagamaba byonna Kamateeka byayogedde ssi mazima ekiri e Nalufenya kikambwe.

Omubaka Akol ategezezza nti bako,aokwekenneya mu biwandiiko nga biraga nti absinga ku basibe e Nalufenya balwadde era ngabswo bakakasa nti batulugunyizbwa.

Alipoota zonna ziraze nti Nalufenya ssi poliisi wabula kifo kya poliisi ekyatekebwao ku mirembe gyabzungu okukumiramu abamenyi bmateeka.

Yyo Government ewakanyizza ebyoktulugunyanga abasibe e Nalufenya.

Bwabadde awa wa gavumenti wesibidde ku nsonga zino ezokutulugunyanga absibe, minister omubeezi owensonga zomunda mu gwanga Obiga Kania nti Nalufenya police eya ddala wabulanga byonna byebajogerako ssi bituufu.

Kati kubya Mayor we Kamwenge, Geoffrey Byamukama agambye nti ono yatulugun yizbwa tanatwalibwayo eranga abasirikale abali emabega wa byonna bakwatibwa ensonga zzabwe ziri mu kitongole kya poliisi ekikwsisa emipisa.

Agambye nti bamanyidde ddala amateeka agawata ku kutulugunya nga tebayinza kukikola

Mungeri yeemu President Museveni alagidde ssabapoliis we gwanga Gen Kale Kayihura okutekawo okutendekebwa okwe njawulo mu poliisi ku neri gyebakolamu emirimu.

Bino byebimu ku byatukiddwako mu lutuula lwakabondo kababaka ba NRM akatudde olunnaku olwe ggulo.

Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa yayanjudde ebyo ebyabadde mu kabondo ka NRM.