Amawulire

Katemba mu Kkooti e Makindye

Katemba mu Kkooti e Makindye

Ivan Ssenabulya

April 26th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Katemba alabiddwako mu kkooti ya maggye e Makindye omu ku basibe bwavudde mu kaguli nayagala okwambalira omu ku basirikale.

Muhydin Kakooza yoomu ku bannakibiina kya NUP 32 abalabiseeko mu kkooti eno enkya ya leero okuwulira emisango gyabwe.

Wabula oluvanyuma lw’omusango gwabwe okwongezebwayo abuuse mu kaguli nga bwayimba akayimba ka bobiwine aka Tuliyambala Engule nga bwayolekera awali omusirikale.

Omusango gwa bano gwongezedwayo okutuuka nga May 9th 2022.

Kino kidiridde bannamateeka babavunanwa okutegeeza abalamuzi ba kkooti eno nga bakulembedwamu Lt Gen Andrew Gutti nga bwebatali betegefu kugenda mu maaso nókuwulira omusango guno olwaleero kuba ebikwata ku mujjulizi mu musango guno bibatuuseko kikerezi.

Bano basabye kkooti okubawaayo akadde okwetegereza obujjulizi buno nga bwebategeka okwewozako kwabwe.

Banna kibiina kya NUP bavunanibwa gwa kusangibwa ne bissi mu bumenyi bwa mateeka.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa November 2020 ne May 2021, abavunanwa basangibwa ne boomu songa si basirikale.

bano bakwatibwa mu bitundu okuli Jinja, Kireka, Nakulabye, Nateete ne mumasekati ga Kampala