Amawulire

Kasibante Ayimbuddwa

Ali Mivule

January 17th, 2014

No comments

kasibante to prison

Omubaka w’amambuka ga   Rubaga    Moses Kasibante awonye ekomera.

Ono yeyimiriddwa ku bukadde bw’ensimbi 3 ezabuliwo  nabamweyimiridde okuli  mubaka munne Medard Lubega Ssegona ne kansala w’eLungujja Baluddewo Sam ku bukadde 50 buli omu  ezitali zabuliwo.

Ye Loodi meeya wa kampala  Erias Lukwago n’omubaka wa minicipali ye Masaka Mathius Mpuuga omulamuzi wa kooti ya Mwanga II Susan Abinyo abaganye okweyimirira Kasibante .

Ategezezza nga bwebalina  obuvunanyizibwa bunji obw’okutukiriza nga bayinza okwerabira okumujukiza okweyanjula mu kooti.

Alagiddwa okudda  mu kooti nga 7 omwezi ogujja .

Kasibante avunanibwa buteyanjula mu kooti nga yeyimiriddwa era abadde ku alimanda  mu komera e Luzira okuva ku lunaku olwokusatu.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *