Amawulire

Kanyeihamba agobeddwa mu musango gw’ababaka

Ali Mivule

March 4th, 2014

No comments

Kanyeihamba thrown out

Ababaka abana abagobwa mu palamenti ne mu kibiina kya NRM basazeewo okusuula ebbali abadde munamateeka wabwe  George Kanyeihamba nebamusikiza Caleb Alaka ne Peter Walubiri. .

Ono akitegedde ku makya galeero bw’abadde azze mu kooti okuwolereza abana bano mu kooti ensukulumu era alagiddwa okwamuka awatuula abawolereza aban bano.

Bbo abalamuzi ba kooti ensukulumu abataano batuuse dda okuwulira okwemulugunya kwabana bano nga bawakanya ekya kooti etaputa ssemateeka okubagoba mu palamenti kubanga ekibiina kyaabwe ekya NRM nakyo kyali kyabanabira maaso.

Abana bano kuliko Mohammad Nsereko, Theodore Sekikubo, Wilfred Niwagaba ne Barnabas Tinkasimire.

Bannamateeka b’ababaka bano nga bakulembeddwaamu Peter Walubiri basabye nti kooti eyimirize eby’okubagoba mu palamenti kubanga bajulira kyokka nga bbo aba gavumenti nga bakulembeddwamu Denis Birigye bagambye nti tewakyaali kyakutaasa kubanga sipiika wa palamenti yassa dda mu nkola ebiragiro bya Kooti.

Kati abalamuzi abataano mu kkooti ejulirwaamu bakutuula ku lw’okuna nga 6 omwezi guno okusalawo ekyenkomeredde ku nsonga eno.