Amawulire

Kansala Ssegawa bamuwadde obwa RDC

Kansala Ssegawa bamuwadde obwa RDC

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Enkyukakyuka ezakoleddwa muba RDC neba RCC, omukulembeze wegwanga zolekedde okuleka ekifo ekimu nga kikalu mu munisipaali ye Mukono.

Kansala wa Ngandu-Kigombya ku lukiiko lwa munisipaali ye Mukono, Mike Ssegawa yoomu ku balondeddwa okumyuka ba RDC.

Ssegawa ngabadde kansala, yatumiddwa RDC mu Jinja South City division.

Bwabadde ayogerako naffe, Ssegawa nga munnamwulire era eyali editor ku Daily Monitor yakakasizza nga bweyakirizza omulimu ogwamuwereddwa.

Agambye nti agenda kuyita mu mateeka nowebuuza, abalonzi wakubabaulira ekiddako.