Amawulire

Kampuni yaba-China egoba abantu 10,000 okuva ku ttaka

Kampuni yaba-China egoba abantu 10,000 okuva ku ttaka

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Magembe Sabiiti

Abatuuze ku byalo 5 mu gombolola ye Madudu mu disitulikiti ye Mubende basobeddwa, olwa kampuni yaba China eya Fomasa, esimba emiti okubagobaganya ku bibanja byabwe nokubatulugunya.

Abatuuze bagamba nti babakuba emiggo, nga tebakyalina na webalimira mmere.

Amyuka omubaka wa gavumenti e Mubende Nakaye Kabonge ayingidde mu butakanya obuli ku ttaka lino eriwangalirako abantu abawera omutwalo mulamba.

Kati RDC Kabonge Nakaye avumiridde ekya baddukanya kampuni eno okugaana okujja mu lukiiko atenga bayitibwa, ekikolwa ekiraga obujeemu.

Omu kubaddukanya kampuni eno gwetutegedeko erya Anna mu kwogerako naffe yegaanye byonna ebibogerwako.