Amawulire

Kampuni ya Nile Treasure Gate bagiguddeko emisango

Kampuni ya Nile Treasure Gate bagiguddeko emisango

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Amyuka ssentebbe owekitongole kya National prevention of trafficking Person’s wansi wa minisitule yensonga zomunda mu gwanga, Agnes Igoye ategezezza nga bwebaliko kampuni gyebaguddeko emisango, eyatwala Judith Nakintu mu Saudi Arabia okukuba ekyeyo, gyabasinziira okumujjamu ebintu byomubiri.

Agambye nti abaddukanya kampuni ya Nile Treasure Gate Company Limited baguddwako emisango, file gbaagitutte ewa Ssabawaabi wa gavumenti okuwabulwa, era bagenda kuvunanibwa mu tteeka lya Anti trafficking of persons act.

Okusinziira ku Igoye, Nakintu yatwalibwa mu December 2019 era bakama be, baamutwala mu ddwaliro nga bamulimba okumukebera ssenyiga omukambwe, yazukuka mulwadde nga bamujeemu ensigo.

Baalimba nti yafa, oluvanyuma lwokugwa ku kabenje ekitaali kituufu, era kati ali mu mbeera mbi, alina obuvune obwamaanyi ku bwongo.