Amawulire

Kamera baagala kuziwera mu kooti

Kamera baagala kuziwera mu kooti

Ivan Ssenabulya

August 8th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Essiga eddamuzi bavuddeyo n’ekiteeso mwebaglira okuwera kamera mu kooti.

Bino byebigoberedde ebyali mu kooti ya Buganda Road jolyabalamu, abantu bwebakuba omulamuzi Gladys Kamasanyu akacupa bweyali asala omusango gwa Dr Stellah Nyanzi.

Kati ssabalamuzi we gwanga Bart Katureebe agambye nti baazudde nga nebanamateeka bevudde ekiralala, kati anbwoza kunyumisa eri banamawulira mu maaso ga kamera ssi kumatiza na kunyonyola amateeka kyegagamba.

Bino abyogeredde mu lukungaana lwabanamateeka nabalamuzi, olutudde wano mu Kampala.

Wabula yye presidenti wabanamateeka wansi wa Uganda Law society Simon Peter Kinobe asabye banamateeka okukoleranga emirmu gyabwe mu bukugu.