Amawulire

kalungi talina musango

Ali Mivule

January 7th, 2014

No comments

Kalungi case

Bannamateeka abawolereza eyali muganzi w’omubaka Cerina Nabenda basabye kkooti emwejjereze kubanga talina musango.

Bano abakulembeddwaamu Nsubuga Mubiru ne Macdusman Kabega bagambye nti Nebanda teyali mwana muto kukozesa biragalalagala ebyogerwaako nga tategeera

Bino babyogedde bafundikira omusango guno nga buli luuyi luwaddeyo ebyaalwo.

Bbo bannamateeka abalumiriza Adam Suleiman Kalungi okutta muganzi we olwaleero balemereddwa okulaga nti Nebanda yalina obuzibu ku bwongo nga tasobola kutegeera nti enjaga mbi.

Kalungi ne banne abalala bataano bavunanibwa gwa kutta Celina Nebanda mu butanwa,okutambuza ebiragalalagala kko n’okubikozesa

Omulamuzi aguli mu mitambo Esther Nambayo ataddewo olunaku lwa nga 31 omwezi guno okuwa ensala ku musango guno.

Celina Nebanda yafa mu mwaka gwa 2012

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *