Amawulire

Kalungi gumusse mu vvi

Ali Mivule

January 31st, 2014

No comments

Kalungi case

Eyali muganzi w’omubaka Cerina Nebanda nga ye Adam Suleiman Kalungi omusango gumusse mu vvi.

Omulamuzi wa kooti ento e Makindye agambye nti Kalungi yalwaawo okuddusa Nabenda mu ddwaliro ekyamuviira okufa.

Abalala abasingisiddwa omusango gwekuli omusajja ategerekese nga Ali Umar ng’ono yye ogumusinze gwakusangibwa na biragalalagala.

Bbo abalala abana b’ababadde avuunanibwa nabo bejerezeddwa

Kalungi yakwatibwa amangu ddala ng’omubaka Nebanda yakafa era n’aggulwaako emisango gy’ettemu kyokka nga yamala n’ajjibwaako emisango gino

Bino byaliwo ng’ennakuz ‘omwezi 14 omwezi gwa December mu mwaka 2012 mu bitundu bye Buziga mu kampala