Amawulire

Kalisoliiso ayongezaayo ssalessale w’okwanja eby’obugagga

Kalisoliiso ayongezaayo ssalessale w’okwanja eby’obugagga

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Kalisoliiso wa gavumenti ayongezaayo ssale ssale eri abakozi ba gavumenti nabakulembeze okwanja ebyobugagga byabwe.

Amyuka kalisoliiso wa gavumenti, Mariam Wangadya aliko ekiwandiiko kyafaulumizza mwalagidde nti ssale ssale owolunnaku lwe ggulo nga 31 March 2021 baamwongezaayo, okutuuuka nga 23 April 2021.

Kati alabudde nti tewajja kubeera kwongezaayo kulala.

Kinajjukirwa ku mulundi guno kalisoliiso yabaga anetekateeka ngabakulembeze nabakozi ba gavumenti bayita ku mutimbagano okwanja ebyobugagga byabwe.

Kino kikwata ku bakulembeze naabo abagenda okunyuka, oba okuva mu bifo byebabaddemu.

Bano okwanja ebyobugagga kirambikiddwa mu tteeka erya Leadership Code Act 2002.