Amawulire

Kaihura atabukidde abawa amawulire ku butujju

Ali Mivule

September 15th, 2014

No comments

Kaihura again

Ssenkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura ayisizza okulabula eri aba poliisi obutaddamu kufulumya mawulire ku bikwekweto ebikolebwa ku batujju

Obubaka buno busindikiddwa ku poliisi zonna era ng’anavvoola ekiragiro kino wakubonerezebwa

Kaihura agamba nti omwogezi wa poliisi yekka y’akkirizibwa okuwa amawulire.

Bino bizze nga poliisi ky’ejje ekwate abantu 19 abagambibwa okuba nga babadde bategese okulumba Uganda

Bino byaaliwo ku lunaku lw’omukaaga

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *