Amawulire

Kadaga simusanyu n’enkola y’okugaba sente mu bavubuka.
Bya Samuel Ssebuliba.
Sipiika wa palamenti Rebecca alitwala Kadaga akaladde n’alagira government okunyonyola ensonga lwaki president yeetikka ebisawo bya ssente nabigabira abavubuka ba Kampala boka, kyoka nga n’emubitundu by’ebyalo waliyo abavubuka ebeetaga obuyambi.
Eno ensonga ereeteddwa omubaka omukyala owe Bugiri Agnes Taaka , nga ono agambye nti enkola nga ey’okuzimbira abavubuka obutale n’ebifo webakolera egenda mu maaso mu Kampala, abavubuka abawala babangulwa mu mirimo egyenjawulo , songa era wano mu kampala buli akola sacco yaafuna akasimbi ekitali ku bavubuka abava mu bitundu ebirara.
Kati ky’ekiwaliririzza sipiika okusaba government eveeyo enyonyole, kubanga naye e Kamuli gyakikirira talabangayo president nga aleeta ekutiya za ssente nga bwakola mu Kampala.
Wabula mu kwanukula Nampala wa government Ruth Nankabirwa agambye nti enkola eno eyokugaba ssente ekola mu bavubuka abali mu bitundu ewatanatuuka nkola eya Operation wealth creation ne NAADS kale nga abaali bafunye mu nkola ezo tebagwana kulinda wadde enusu okuva eri president