Amawulire

KACITA basazeewo okuggala amadduuka

KACITA basazeewo okuggala amadduuka

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abasubuzi mu kibuga wansi wekibiina ekibagatta, Kampala City Traders Association (KACITA) bakanyizza okuggala amaduuka gaabwe gonna olwaleero, nga bekalakaasa okulaga obutali bumativu bwabwe eri gavumenti.

Gavumenti bajinenya okulemererwa okukola ku bizibu byabwe.

Okusinzira ku mwogezi wa KACITA, Isa Ssekito kino bagenda kukikola mu bulumi obwamaanyi kunamga bazze bekubira enduulu eri gavumenti entakera, naye tebayambiddwa.

Ekyababagudde beba landiloodi, babanja ssente zobupangisa ezemabega nemu biseera byomuggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Ebirala, bgamba nti nekitongole ekiwooza kyomusolo kyagaanye okubasonyiwa omusolo myezi gyebamaze nga tebakola era olwa ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *