Amawulire

Kabaka baamuwadde endaga muntu

Kabaka baamuwadde endaga muntu

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu gwanga, Col. Moses Mwesigwa, akubiriza abantu mu gwanga okwekubiriza bafuna endaga muntu, era batwale Kabaka ng’eky’okulabirako.

Kino kiddiridde Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II olunaku lw’eggulo abakungu b’ekitongole kya NIRA okugenda mu Lubiri lwe e Bbanda nebamuwa endaga muntu.

Kabaka densite yamukwasiddwa kaminsona, nga yasooka kujjuza foomu ezisaba okufuna densite n’akubwa ekifaananyi n’okuteeka ekinkumu kye mu kyuma, nga bino yabikolera mu Lubiri lwe e Mmengo emabegako okutuusa lweyasiimye endaga muntu n’emukwasibwa.

Abamu ku beetabye ku mukolo guno, kubaddeko omumyuka wa Meeya w’e Lubaga omulangira Asuman Ntale.