Amawulire
Kabaka asiimye okwaniriza Sultan
Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, olwaleero asiimye mu butongole okwaniriza, omugenyi we owenjawulo Sultan owe Sokoto okuva mu gwanga lya Nigeria Saad Abubakar Muhammed III e Bulange–Mengo.
Okusinziira ku ntekateeka eyafulumiziddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga Sultan, oluvanyuma lwokwanirizibwa waakukyalirakoJajja wobusiraamu Omulangiirra Kasim Nakibinge Kakungulu e Kibuli ngoluvanyuma, wakusaala Juma ku muzikiti e Kibuli.
Katikkiro Mayiga ategezezza ngomugenyi bweyasiimye byonna ebikolebwa obwakabaka bwa Buganda, kubanga obwakabaka bwe bulina bingi byebugabana nobwa Buganda naddala mu byafaayo.
Muhammadu Sa’ad Abubakar, olunnaku lwe ggulo yalambudde essomero lya Lubiri high school, okumanya engeri Buganda gyekuttemu ebyenjigiriza.