Amawulire

Kabaka Alagidde Kyapa mu Ngalo Esomesebwe Abantu

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 alagidde amanyi gongerwe mu kusomesa abantu ku ntekateeka yekitongole kyobwakabaka bwa bUganda ekyeby ttaka ekya Bunga Land Board kyebatuuma “Kyapa mu ngalo”

Ssabasajja asinzidde ku mukolo gwe Nyimba, amazina ne Katemba ogubadde ku ssomero lya St. Jude Primary School mu ssaza lye erye Ssingo mu district ye Kyankwanzi.

Alagidde ekitongole kyebye ttaka enbitongole byobwakaba ebiralala okudda mu bantu babsomese bategeere bulungi obukulu bwentekateeka zebaba bavuddeyo nazo.

Omutanda ku mukolo gwegumu yebaziiza nyo abakuma embuga zobwakabaka gategezezza nti wakati mu kusomozebwa okwamanyi, emirimu babadde bajikola.

Wano alagidde abasomesa nabazadde  okuyamba nokwagazisa abaana okwetaba mu kuyimba ne katemba, emizanyo nebiralale biyiiye okusobola okwezuula nokuvumbula ebitone byabwe.

Ssaabasajja Kabaka yasiimye okwetaba ku mikolo gy’abayizi egy’ennyimba, okuzina ne katemba egya ‘Buganda Royal Arts Shield Festival nomulanga okubeera abwulize eri Namulondo.

Omutanda amaze ennaku bbiri mu ssza lye lino, mu bitundu bye Kyankwanzi ne Kiboga nga yalambudde olusiisira lw’eby’obulamu olwategekeddwa mu gombolola ye Ntwetwe ngeno, yagemye abaana, oluvannyuma yeyongeddeyo e Byerima gyeyalambudde olusiisira lw’eby’enjigiriza.

Mukusooka kamalabyonna wa Buganda Cahrales Peter Mayiiga asabye abantu ba Ssabasajja okukola ebintu ebyomugaaso nga bakolera  wamu awatali kweyawulamu.

Ono ategezezza nti okulambula kwa bbene kuleetawo suubi mu bantu nga gwemulmwa omukulu.