Amawulire

Kabaka akubiriza abasajjabe okukola enyo kulwóbwakabaka

Kabaka akubiriza abasajjabe okukola enyo kulwóbwakabaka

Ivan Ssenabulya

March 22nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 akubiriza abakulembeze mu bwakabakabwe ku mitendera egyenjawulo okufuba okulaba nga buli omu atukiriza obuvunanyizibwa bwabwe Buganda edde kuntiko.

Bino bibadde mu bubakabwe bwattise kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayinga mu kuggulawo olukungana lwa bakulembeze olw’omwaka guno, oluyindira ku Nile Hotel e Njeru.

Ssabasajja ateegezeza nti okubalukawo kwe kirwadde kya senyiga omukambwe kyakosa nyo enzirukanya y mirimu mu bwakabaka wabula nasaba abasajjabe okusitukiramu okudamu okukakalabya emirimu oluvanyuma lwa gavumenti eyawakati okugyawo omuggalo.

Mungeri yemu ssabasajja bano abakuutidde okukolaganira awamu nókuwuliziganya obulungi lwebajja okutuuka ku kigendererwa.

Olukungana lutambulira wansi wimulamwa ogugamba nti “ Okunyikiza Federo owébikolwa aluubirira okutumbula embeera za bantu.