Amawulire

Joyce Bagala awera wakudda mu palamenti

Joyce Bagala awera wakudda mu palamenti

Ivan Ssenabulya

October 22nd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Munnakibiina kya National Unity Platform Joyce Bagala, mukakafu nti wakuwangula akalulu mu kudamu okulonda omubaka omukyala owa Mityana.

Kino kidiridde kkooti enkulu e mubende wansi wómulamuzi Emmanuel Baguma, enkya ya leero okusazaamu okulondebwa kwa Bagala ngómubaka omukyala owa disitulikiti eno.

Mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwokulamula kwa kkooti kuno, Bagala agambye nti bakisuubira kkooti okufutryanka obuwanguzibwe naye nga mugumu nti wakungula singa akalulu kadibwamu kuba abantu abamulonda era bakyamwesiga.

Obuwanguzi bwa Bagala bwawakanyizibwa minisita avunanyizibwa kunsonga zéttaka, amayumba ne nkulakulana yé bibuga munna NRM, Judith Nabakooba nga alumiriza nti waliwo obuvuyo mu kulonda okwaliwo mu mwezi gwa gatonya omwaka guno omwali nábalonzi okulonda emirundi 2, okubba obululu ne birala ekyavirako Bagala okuwangula minisita Nabakooba