Amawulire

Joshua Cheptegei awangulidde Uganda Omudaali ogwa Zaabu mu za Olympics

Joshua Cheptegei awangulidde Uganda Omudaali ogwa Zaabu mu za Olympics

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2021

No comments

Bya musasi waffe

Munnabyamizannyo Joshua Cheptegei awangulidde Uganda omuddaali ogwa zaabu mu mpaka za Olympics eziyindira mu kibuga Tokyo mu Japan.

Ono yawangudde emisinde gya basajja egya egya mita 500.

Adiriddwqa munnansi wa Canada Mohammed Ahmed afunye omudaali ogwa silver ate Paul Chelimo owa America yakutte ekyokusatu nafuna ogwa bronze.

Ye munnauganda Jacob Kiplimo akutte kyakutaano mu mpaka zino.

Cheptegei ne Kiplimo, balina emidaali ogwa Silver ne bronze gyebawangula gyebuvuddeko mu mita 10,000.

Mungeri yemu Winnie Nanyondo ali mu nsiike, mu misinde gyabakyala mita 1500, tumusabire naye akikole