Amawulire

Ivory Tower bagenda kujiteeka ku ttaka

Ivory Tower bagenda kujiteeka ku ttaka

Ivan Ssenabulya

March 16th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ekizimbe ekibadde ekyali kisinga obukadde ku ttendekeri ekkulu mu gwanga erye Makerere, ekya Ivory tower bagenda kukisanyawo mu wiiki 2, okusobola okutandika okuzimba ekippya.

Ekizimbe kino kyali kiweza emyaka 81, wabula kyakwata omuliro nga 20 mu Nevemba wa 2020.

Ekizimbe kino kyabyafaayo, nga kyekyali kisnga obukadde, era ekizimba ekikulu okwali kutudde wofiisi za univasite ezisinga.

Ekizimbe kyawereddwayo mu mikono gya Excel Construction Company abagenda okuzimba.

Amyuka ssenkulu we Makerere Prof Barnabas Nawangwe agambye nti basubira, omulimu gunaaba gujiddwako engalo mu August womwaka guno.

Okusinziira ku Prof Nawangwe, palamenti yayisa embalirirra ya obuwumbi bwa silingi 201, ku mulimu gwokuzimba okuzaawo ekizmbe kino.