Amawulire

Islamic State bakakasizza nti bebakubye bbomu e Kamomboga

Islamic State bakakasizza nti bebakubye bbomu e Kamomboga

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Reuters

Abajambula aba Islamic state bakakasizza nti bebakoze obulumbaganyi bwa bbomu ku baala e Komamboga, mu kiro kyolwomukaaga.

Muno mwafiriddemu omuntu omu nabalala 3 nebalumizibwa.

Eyafudde yabadde muvubuka owemyaka 20, waita mu kifo kino.

Kati okusinziira kubomukutu gwa Reuters, aba IS baliko ekiwandiiko kyebatadde ku Telegram channel zaabwe akwungeezi keggulo nga bakakasa nti bebakoze obutujju buno.

Bagambye nti babadde balubirirdde ba mbega ba gavumenti nabawwagizi baayo, bebagemba nti babadde mu kifo ekyo.

Amwulire gaalaze nti waliwo abasajja 3 abazze nga beefudde ba kasitoma, nebabaako ekiveera kyebalese omwabadde bbomu oluvanyuma eyabwatuse.