Amawulire

Idi al adha abasiraamu bakubirizidwa

Idi al adha abasiraamu bakubirizidwa

Ivan Ssenabulya

August 11th, 2019

No comments

Bya Moses Ndaye ne Prossy Kisakye   Mufuti wa Uganda Sheik Ramadhan Mubajje asabye abayisiraamu okuwagira okwogerezeganya okugenda mu maaso mu ggwanga abakulembeze mwe basololeza ebirowoozo bya bannauganda kunsonga ez’enjawulo.

Bino mufuti abyogeredde ku muzikiti gwa gadafi e Kampala mukadde bwabadde mu kusaaza idi al adha

Mubajje agamba nti okwogerezeganya okugenda mu maaso oba kiyite national dialogue kugenderedde kuleetawo mirembe n’obumu nga na bwekityo basanye bakuwagire

Ono ayogedde ne ku basiraamu ba masheikh abawabya abagoberezi okuyita mu njiri ey’obulimba nti basanye bafune okuwabulwa eri abamanyi ensonga.

Mufuti okwogera bino nga waliwo abasiraamu abagambye abagoberezi baabwe okusiiba ku lunaku olw’omukaaga, okusiiba okubeerawo nga idi ye bisolo tenabaawo, kyagamba nti kikyamu kuba obusiraamu tebukkiriza muntu kusiiba ku lunaku olwomukaaga okujako nga bali mu mwezi omutukuvu ogwa ramathan.

Ate ye Sheikh Lukman wakinyankali akulembeddemu okusaala idi aduha ku muzikiti e Kibuli avumiridde ettemu elikudde ejjembe ku bagoba ba bodaboda mu ggwanga

wakinyankali agambye nti obusiraamu tebuwagira bikolwa nga bino bwatyo n’abakubiriza okwewala ebikolwa bya masitaani ebiva ku mulugube gwensimbi ebitasanyusa allah

Ono ajjukiza abasiraamu nti waliwo olunaku lw’okusala omusango buli muntu wali labika mu maaso ga katondawe amusasule ng’ebikolwa bye bwebyali nsi.

Mungeri yemu Omulangira Hasim Nakibinge akubiriza abakulembeze babayisiraamu okubeera ab’esigwa era ab’esimbu eri eddiini yaabwe bewale okutwalibwa ensimbi ezigwawo.

Bino abyogeredde mu kusaala idi al adha ku muzikiti e kibuli

Nakibinge agamba nti abakulembeze bangi batwalibwa omwoyo gw’okwagala enyo ensimbi mu kifo ky’okukolerera obusiraamu

Ono abasabye okubeera eky’okulabirako eri abakulembeze bamaddiini abalala obwesige bwabwe babuteeke mu Allah kuba yemugabirizi wa buli kimu.

Ku muzikiti gwa Nakivubo Blue primary school okusaala kukulembedwamu sheikh Yahaya Mwanje ono akuutidde abasiraamu okwewala okulya enguzi ku mitendera gyonna.

Sheikh Mwanje agamba nti tewali ngeri eggwanga gyelisobola okukulakulanamu singa obulyake tebukoma.

Asabye abasiraamu okukulemberamu olutalo mu kulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga nga bayita mu kubuvumirira mu masinzizo.

Mungeri yemu sheikh mwanje abuliridde abasiraamu okukola enyo ngagamba nti obusiramu tebwagala bamulera ngalo.