Amawulire

Gwebatutte mu ssabo ng’ali mu nsonga awonye okusadaakibwa

Gwebatutte mu ssabo ng’ali mu nsonga awonye okusadaakibwa

Ivan Ssenabulya

August 22nd, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omusajja owemyak 45 mu district ye Luuka aliira ku nsiko oluvanyuma lwokugezaako okusadaaka muwala we owemyaka 13.

Emmanuel Bwana nga mutuuze ku kyalo Kamwirungu mu gombolola ye Bulongo kigambibwa nti yakutte muwala we okuva ku nayikondo, gyeyabadde agenze okukima amazzi, nga wali nabasajja abalala 4 nebamutwala mu ssabo e Bumanya ku musamize eyabadde nomusota.

Wabula kigambibwa nti omusamize yagobye sadaaka eno, nti yabadde tetukiridde kubanga omwana yabadde mu nsonga ze, ngakulukuta.

Maama womwana Teddy Nabirye agambye nti omusajja we, abaddenga amugamba nti ali ku lutalo lwakunoonya bugagga.