Amawulire
Gwebateberezza okuba omubbi w’emmotoka bamusse
Bya Gertrude Mutyaba
Abatuuze mu district ye Lyantonde batwalidde amateeka mu
ngalo nebatta, gwebabadde batebereza okubeera omubbi w’emmotoka atenga omulala gwabadde naye abuse n’ebisago ebyamanayi.
Omugenzi tategeerekese mannya, wabula kigambibwa nti
babadde bapangisizza omugoba wa mmotoka Dennis Kiberu mmotoka kika kya Premio number UBD 184/N wabula webatuuse e Kaliro-Kashagama nebamwefulira
nebamusiba emiguwa nokumussa super ggulu ku mimwa nebamukuba.
Abatuuze bagamba nti bafunye essimu nti waliwo mmotoka ebadde ebbiddwa, olwo nebatandikirawo omuyiggo.
Aduumira poliisi ye Lyantonde Dennis Odoki akakasizza ettemu lino, wabula navumiroirra ekyokutwalira amateeka mu ngalo.
Agambye nti okunonyereza kutandise