Amawulire

Gwebasanze n’embuzi enzibe bamusse

Gwebasanze n’embuzi enzibe bamusse

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi ye Kibinge mu district ye Bukomansimbi etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa, ku musajja owemyaka 45 gwebabadde balumiriza okubeera omubbi wembuzi.

Eric Mubiru omutuuze we Kiwamitugo-Butayinja atiddwa oluvanyuma lwabatuuze okumusanga ne nembuzi enzibe ngajisaze.

Ssentebbe we gombolola ye Kibinge Sowedi Sserwadda agambye nti omugenzi ne banne abakyayigibwa, alabika nga yabaddenga emabga wobubbi bwebisolo mu kitundu.

Kati omuddumizi wa poliisi e Bukomansimbi Sowedi Manisur, agambye nti batandise okuyigga bonna abatwalidde amateeka mu ngalo nebatta omusajja ono.